Nehemiah 10:35-37

35 a“Ate era tutwala obuvunaanyizibwa okulaba nga buli mwaka tuleeta mu nnyumba ya Mukama ebibala ebisooka ku bisimbe byaffe ne ku buli muti ogubala ebibala.

36 b“Era nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka, tunaaletanga abaana aboobulenzi ababereberye, n’ennyana ennume ezisooka ez’ente zaffe, n’ennyana z’amagana gaffe, n’ez’ebisibo byaffe, eri bakabona abaweerereza mu nnyumba ya Katonda waffe.

37 c“Tunaaleetanga mu mawanika g’ennyumba ya Katonda waffe, eri bakabona, ekitole ekibereberye ku mmere gye tunaabanga tugoyezza, ne ku biweebwayo byaffe, ne ku bibala ebya buli muti gwaffe ebiriibwa, ne ku wayini waffe, ne ku mafuta. Ate era tunaaleeteranga Abaleevi ekimu eky’ekkumi ku bimera byaffe, kubanga Abaleevi be bakuŋŋaanya ebitundu eby’ekkumi mu byalo byaffe byonna gye tulimira.
Copyright information for LugEEEE